Judges 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja aba Efurayimu ne banenya Gidewoni nti: “Watukola ki kino, n'ototuyita ng'ogenda okulwanyisa Midiyaani?” Ne bamuyombesa n'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watuyisa bw’otyo, n’ototuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bamunenya nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watukola bw'otyo, n'ototuyita nga ogenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bayomba nnyo naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja b'Efurayimu ne bagamba Gidiyoni nti: “Lwaki watuyisa bw'otyo obutatuyita ng'ogenda okulwanyisa Abamidiyaani?” Ne bamunenya nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Efulayimu ne bamugamba nti Kiki ekikukozezza ffe bw'otyo, obutatuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani? Ne bayomba nnyo naye.