Judges 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zeba ne Zalumunna baali bawummuddeko mu Karukori n'eggye lyabwe lyonna, abasajja ng'omutwalo gumu mu enkumi ttaano, abaali basigaddewo ku ggye ly'abantu b'ebuvanjuba; abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri abakwasi b'ebitala baali battiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’eggye lyabwe ery’abasajja ng’omutwalo gumu n’ekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna ery’abantu ab’obuvanjuba. Abasajja ng’emitwalo kkumi n’ebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe eryafikkawo abasajja omutwalo gumu n'ekitundu (15,000), kubanga abalwanyi abalala emitwalo kkumi n'ebiri (120,000) baali bafudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zeba ne Zalumunna baali mu Karukori n'eggye lyabwe. Ku ggye lyonna ery'abasajja b'ebuvanjuba, omutwalo gumu mu enkumi ttaano be baali basigaddewo. Abalwanyi emitwalo kkumi n'ebiri baali battiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe awamu nabo, abasajja nga kakumi mu enkumi ttaano, bonna abaafikkawo ku ggye lyonna ery'abaana b'ebuvanjuba: kubanga abasajja abaasowolanga ebitala baali bafudde kasiriivu mu obukumi bubiri.