Judges 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni yayambukira mu kkubo ly'abalunzi ku ludda lw'ebuvanjuba wa Noba ne Yogubewa n'azinduukiriza eggye nga teririndiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gidyoni n’ayambukira mu kkubo ly’abo ababeera mu weema ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Noba n’e Yogubeka n’alumba eggye nga teritegedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni n'ayambukira mu kkubo ery'ebuvanjuba bwa Noba n'e Yogubeka, n'azindukirizza eggye nga terimanyiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni n'ayambukira mu kkubo ery'ebuvanjuba bwa Noba ne Yogubeha, n'alumba, eggye nga terimulindiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni n'ayambukira mu kkubo lyabo abatuula mu weema ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Noba n'e Yogubeka, n'akuba eggye: kubanga eggye lyali terimanyiridde.