Judges 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zeba ne Zalumunna ne badduka; Gidewoni n'abagoba, bakabaka bombi aba Midiyaani, Zeba ne Zalumunna, n'abawamba; eggye lyonna ne libuna emiwabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeba ne Zalumunna ne badduka, naye n’abawondera, era n’awamba bakabaka bombi aba Midiyaani, n’awangulira ddala eggye lyabwe lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zeba ne Zalumunna bakabaka bombi abe Midiyaani ne badduka; n'abawondera; n'abawamba, egye lyonna ne litya nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka bombi Abamidiyaani Zeba ne Zalumunna ne badduka, kyokka Gidiyoni n'abawondera n'abakwata, n'atiisa eggye lyabwe lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zeba ne Zalumunna ne badduka; n'abagoberera; n'akwata bakabaka ba Midiyaani bombi, Zeba ne Zalumunna, n'atiisa eggye lyonna.