Judges 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakwata omuvubuka omu ow'omu basajja b'e Sukkoti n'abaako by'amubuuza. Omuvubuka n'amuwandiikira amannya g'abasajja nsanvu mu musanvu abakungu era abakadde b'ekibuga Sukkoti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asangiriza omuvubuka ow’oku bantu ab’omu Sukkosi, n’abaako by’amubuuza. Omuvubuka n’amuwandiikira amannya g’abakungu ab’omu Sukkosi, abakadde nsanvu mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awamba omuvubuka ow'omu Sukkosi, n'amubuuza ebifa ku balangira ab'e Sukkosi; awo omuvubuka n'amuwandiikira amanya nsanvu mu musanvu (77), agabalangira n'abakadde baayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'awamba omuvubuka w'e Sukkoti, n'abaako by'amubuuza. Omuvubuka n'awandiikira Gidiyoni amannya nsanvu mu musanvu ag'abakungu n'abakulembeze mu Sukkoti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akwata omuvubuka ku basajja ab'omu Sukkosi, n'amubuuliriza: n'amutegeeza abalangira b'e Sukkosi bwe baafaanana n'abakadde baayo, abasajja nsanvu mu musanvu.