Judges 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ajja eri abasajja b'e Sukkoti n'abagamba nti: “Zeba ne Zalumunna baabano be mwankiinira nga mugamba nti: ‘Omaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tuwe emigaati abasajja bo abakooye?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni n’alyoka ajja eri abasajja ab’omu Sukkosi n’abagamba nti, “Zeba ne Zalumunna baabo be mwasinzirako okundulira nga muŋŋamba nti, temuyinza kuwa basajja bange abaali bakooye mmere, nga sirina Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gidyoni n'agenda eri ab'e Sukkosi n'abagamba nti, “Mulabe Zeba ne Zalumunna, kwe mwayima okunduulira nga mwogera nti, ‘Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe tulyoke tuwe abasajja bo abakooye emigaati?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Gidiyoni n'agenda eri ab'e Sukkoti n'agamba nti: “Mujjukira nga bwe mwagaana okunnyamba? Mwagamba nti temuyinza kuwa mmere basajja bange abakooye, kubanga nali sinnawamba Zeba ne Zalumunna. Kati baabano, mubalabe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja eri abasajja ab'omu Sukkosi, n'ayogera nti Mulabe Zeba ne Zalumunna, kwe mwayima okunduulira nga mwogera nti Ebibatu bya Zeba ne Zalumunna biri mu mukono gwo kaakano, ffe okubawa emigaati abasajja bo abakooye?