Judges 8:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abuuza Zeba ne Zalumunna nti: “Abantu be mwattira e Tabori baali ba ngeri ki?” Ne baddamu nti: “Baali bakufaanana; buli omu ku bo ng'ali nga mutabani wa kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka abuuza Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti, “ggwe nga bw’oli nabo bwe baali. Buli omu yali afaanana abalangira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'alyoka agamba Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne baddamu nti, “Baali bafaanana nga ggwe, nga bali ng'abaana ba kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Gidiyoni n'abuuza Zeba ne Zalumunna nti: “Abasajja be mwattira e Tabori baali bafaanana batya?” Ne baddamu nti: “Baali bakufaanana, buli omu ku bo ng'afaanana omwana wa kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'alyoka agamba Zeba ne Zalumunna nti Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya? Ne baddamu nti Ggwe nga bw'oli nabo bwe baali; buli omu yafaanana abaana ba kabaka.