Judges 8:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Baali baganda bange, baana ba nnyabo. Mazima Omukama nga mulamu, singa mwabaleka, nange sandibasse.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaddamu nti, “Abo baali baganda bange, abaana ba mmange. Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, singa mwabalekawo, sandi basse mmwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Baali baganda bange, abaana ba mmange; nga Mukama bw'ali omulamu, singa temwabatta nange sandibasse.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni n'agamba nti: “Baali baganda bange, abaana ba mmange bennyini. Ndayira Mukama omulamu nti singa temwabatta, sandibasse mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Baali baganda bange, abaana ba mmange: nga Mukama bw'ali omulamu, singa mwabawonya okufa, sandibasse mmwe.