Judges 8:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alagira Yeteri mutabani we omuggulanda nti: “Situka, obatte.” Naye omulenzi teyasowola kitala kubanga yali atya; yali akyali mwana bwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’agamba Yeseri mutabani we omubereberye nti, “Golokoka obatte.” Naye omuvubuka oyo n’atasowolayo kitala kye okubatta. Yatya kubanga yali akyali mulenzi bulenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba Yeseri mutabani we omubereberye we nti, “Situka obatte.” Naye omuvubuka naatya n'atasowola kitala kye kubanga yali akyali muto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Yeteri, mutabani we omukulu nti: “Situka, obatte!” Kyokka omubuvuka oyo n'atasowola kitala kye. Yatya, kubanga yali akyali mulenzi muto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba Yeseri omubereberye we nti Golokoka obatte. Naye omuvubuka oyo n'atasowola kitala kye: kubanga yatya, kubanga yali akyali muvubuka.