Judges 8:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zeba ne Zalumunna ne bamugamba nti: “Jjangu, ggwe otwettire wennyini, anti ng'omusajja bw'ali, n'amaanyi ge.” Gidewoni n'asituka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala n'obulege obuweese ng'omwezi obwalinga mu bulago bw'eŋŋamiya zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ng’omusajja bw’ali, n’amaanyi ge bwe genkana. Gidyoni n’agolokoka n’atta Zeba ne Zalumunna, n’atwala n’ebyali bitimbiddwa mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidyoni nti, “Ggwe situka otutte, kubanga ekikolwa ng'ekyo kikolwa omusajja muzira nga ggwe.” Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala amajolobera agaali mu bulago bw'eŋŋamira zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidiyoni nti: “Ggwe oba otutta! Ekikolwa ng'ekyo kisobolwa musajja!” Gidiyoni n'asituka n'abatta. N'atwala eby'okwewoomya ebyali bitimbiddwa mu bulago bw'eŋŋamiya zaabwe, ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zeba ne Zalumunna ne balyoka boogera nti Golokoka ggwe otugweko: kubanga omusajja nga bw'ali, n'amaanyi ge bwe gali bwe gatyo Gidyoni n'agolokoka n'atta Zeba ne Zalumunna, n'atwala emyezi egyali ku nsingo z'eŋŋamira zaabwe.