Judges 8:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bagamba Gidewoni nti: “Tufuge ggwe, mutabani wo, ne muzzukulu wo, kubanga otuwonyezza mu mikono gya Midiyaani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ba Isiraeri ne balyoka bagamba Gidyoni nti, “Ggwe tufuge ne mutabani wo ne muzzukulu wo, kubanga otulokodde mu mukono gwa Abamidiyaani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne bagamba Gidiyoni nti: “Tufuge ggwe era n'abasika bo, kubanga otuwonyezza Abamidiyaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Isiraeri ne balyoka bagamba Gidyoni nti Tufuge ggwe ne mutabani wo era n'omwana wa mutabani wo: kubanga otulokodde mu mukono gwa Midiyaani.