Judges 8:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni n'abagamba era nti: “Kimu kyokka kye mbasaba: buli omu annondere mu munyago gwe empeta.” Engeri gye baali Abayisimayeli, baali bamanyidde okwambala empeta eza zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni n’abagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Gidyoni n'abagamba nti, “Mbasaba buli muntu ampe empeta ez'omu matu ze yanyaga.” Kubanga Abaisimaeri bayambalanga empeta eza zaabu mu matu gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka n'abagamba nti: “Ka mbasabe kino: buli omu ampe empeta ez'omu matu ze yanyaga.” (Abamidiyaani baalina empeta z'omu matu eza zaabu ng'Abayisimayeli abalala).
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni n'abagamba nti Mbadde njagala okubasaba, mumpe buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga. (Kubanga baali balina empeta ez'omu matu eza zaabu, kubanga Baisimaeri.)