Judges 8:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamuddamu nti: “Tujja kuziwa.” Ne baaliira olugoye, buli omu n'asuulako empeta okuva mu munyago gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu n’ateekako empeta ze yanyaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddamu nti, “Tunaaziwa, si lwa mpaka.” Ne baalaawo ekyambalo, ne basuulako buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baddamu nti: “Tunaazikuwa na ssanyu.” Ne baaliirawo olugoye, buli omu n'ateekawo empeta z'omu matu ze yanyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddamu nti Tunaaziwa, si lwa mpaka. Ne baaliirawo ekyambalo, ne basuulako buli muntu empeta ez'omu matu ze yanyaga.