Judges 8:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni n'akolamu efodi n'agiteeka mu kibuga kye e Ofura; Yisirayeli yenna n'akola obwamalaaya nayo eyo; efodi n'efuukira Gidewoni n'amaka ge gonna omutego.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gidyoni n’addira zaabu n’amusaanuusa n’amukolamu ekifaananyi eky’ekkanzu (efodi), n’akiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni n’enju ye yonna omutego.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni n'abikolamu ekifaananyi eky'ekkanzu n'abiteeka mu kibuga kye, Ofula; Isiraeri yenna ne bava ku katonda ne bagenda ne bakisinza, kino ne kifuukira Gidyoni n'ab'omu maka ge ekyambika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu zaabu oyo, Gidiyoni n'akolamu ekifaananyi, n'akiteeka mu kibuga ky'e Ofura. Abayisirayeli bonna ne bava ku Katonda, ne bagendangayo okukisinza, ne kifuuka kyambika eri Gidiyoni n'ab'omu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni n'abikoza ekkanzu, n'agiteeka mu kibuga kye, mu Ofula: ne Isiraeri yenna ne bagenda ne bagigoberera eyo okwenda nayo: n'efuuka kyambika eri Gidyoni n'eri ennyumba ye.