Judges 8:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Midiyaani n'atoowazibwa mu maaso g'Abayisirayeli; tebaasobola kuddayo kwejugumula; ensi n'eweerako okumala emyaka ana ebbanga lyonna Gidewoni lye yamala ng'akyali mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Midiyaani n’ewangulwa abaana ba Isirayiri, era n’etaddayo kubalumba. Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Midiyaani newangulwa abaana ba Isiraeri netaddamu kubeera kizibu gyebali. Ensi ne baamu emirembe okumala emyaka ana (40), okutuusa Gidyoni lwe yafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Midiyaani n'ewangulwa Yisirayeli, n'eteddamu kubeeraliikiriza. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana, okutuusa Gidiyoni lwe yafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Midiyaani n'ajeemulwa abaana ba Isiraeri, so tebaayimusa nate mitwe gyabwe. Ensi n'ewummulira emyaka ana mu mirembe gya Gidyoni.