Judges 8:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni mutabani wa Yowasi n'afa ng'akaddiyidde ddala, n'aziikibwa ku kiggya kya kitaawe Yowasi e Ofura ekya bazzukulu ba Abiyezeri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’afa, ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula eky’Ababiezeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'akaddiye bulungi, ne bamuziika mu ntaana ya Yowaasi kitaawe, mu Ofula eky'Ababiezeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'amaze okukaddiwa obulungi, ne bamuziika mu ntaana ya Yowaasi kitaawe mu Ofura, ekibuga ky'Ababiyezeeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'amaze okukaddiwa obulungi, ne bamuziika, mu ntaana ya Yowaasi kitaawe, mu Ofula eky'Ababiezeri.