Judges 8:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni olwamala luti okufa, Abayisirayeli ne baddamu okukola obwamalaaya ne Babaali. Beeteerawo Baali-Beriti nga lubaale waabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamala okufa amangu ago abaana ba Isiraeri ne baava ku Katonda ne basinza Baali, ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni nga yaakafa, Abayisirayeli ne baddamu obutaba beesigwa eri Katonda, ne basinza Babbaali, ne bafuula Baali-Beriti lubaale waabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamala okufa amangu ago abaana ba Isiraeri ne bakyuka nate, ne bagenda bayenda okugoberera Babaali, ne bafuula Baaluberisi katonda waabwe.