Judges 8:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'asaba abasajja b'e Sukkoti nti: “Mbeegayiridde, abantu be ndi nabo mubawe ku migaati egy'oluwewere, kubanga bakooye, ate nkyawondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba abasajja ab’omu Sukkosi nti, “Muwe ku basajja bange, ekyokulya, bakooye. Mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba abasajja ab'omu Sukkosi nti, “Mbeegayiridde abasajja abali nange mubawe ku migaati, kubanga bakooye, era nkyawondera Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatuuka e Sukkoti, n'agamba abaayo nti: “Mbeegayiridde, basajja bange mubawe ku mmere, kubanga bakooye, ate nga mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka Abamidiyaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba abasajja ab'omu Sukkosi nti Mbeegayiridde, bawe emigaati abantu abangoberera;kubanga bakooye, era ngoberera Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani.