Judges 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni n'abagamba nti: “Kale, Katonda bw'anampa Zeba ne Zalumunna ne mbakwata, emibiri gyammwe nzija kugitaagulataagula n'amaggwa ag'omu ddungu ne kirobo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gidyoni n’abaddamu nti, “Kale olw’ekyo kye muŋŋambye, Mukama Katonda bw’aligabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ndiyuza emibiri gyammwe n’amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni n'ayogera nti, “Kale Mukama bw'alimala okugabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ne ndyoka mbakubisa amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni n'agamba nti: “Kale, Mukama bw'alimala okuwaayo Zeba ne Zalumunna mu mikono gyange, ndibakubisa amaggwa n'emyeramannyo eby'omu ttale.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni n’ayogera nti Kale Mukama bw'alimala okugabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ne ndyoka nsika omubiri gwammwe n'amaggwa ag'omu nsiko n'emyeramannyo.