Judges 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukunyu ne gugiddamu nti: ‘Ndeke eri obuwoomi bwange n'ebibala byange ebiwooma, ŋŋende nkulire emiti?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nagwo ne guddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu obuwoomi n’ekibala ekirungi, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omutiini ne gugigamba nti, ‘N'andirese obuwoomerevu bwange n'ebibala byange ebirungi, ne ŋŋenda okufuga emiti?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omutiini ne gugamba nti: ‘Ndekerere okubala ebibala byange ebirungi era ebiwoomu, nzire mu kufuga emiti?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omutiini ne gugigamba nti Nandirese obuwoomerevu bwange n'ebibala byange ebirungi, ne ŋŋenda okuyuuguuma ku miti?