Judges 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzabbibu ne gugiddamu nti: ‘Ndeke eri evviini yange ecamula balubaale n'abantu, ŋŋende nkulire emiti?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuzabbibu ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu wayini asanyusa balubaale n’abantu, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuzabbibu ne gugigamba nti, ‘N'andirese omwenge gwange, ogusanyusa Katonda n'abantu, ne ŋŋenda okufuga emiti?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omuzabbibu ne guddamu nti: ‘Ndekeyo okuvaamu omwenge gwange ogusanyusa Katonda n'abantu, nzire mu kufuga emiti?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuzabbibu ne gugigamba nti Nandirese omwenge gwange, ogusanyusa Katonda n’abantu, ne ŋŋenda okuyuuguuma ku miti?