Judges 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye mmwe kati ennyumba ye gye mujeemedde ne mutta batabani be ensanvu ku jjinja limu, ne muddira Abimeleki, mutabani w'omuzaana obuzaana, ne mumufuula kabaka w'abantu b'e Sekemu mbu kubanga muganda wammwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye mmwe ne mujeemera ennyumba ya kitange ne muttira batabani be nsanvu ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki omwana w’omuddu omukazi, kabaka w’abatuuze ab’omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mmwe leero mwefulidde ennyumba ya kitange era mwattira batabani be ensanvu (70) ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki, mutabani w'omuzaana we, kabaka w'abantu ab'omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe olwaleero mwefuukidde ab'ennyumba ya kitange. Era batabani be, abantu ensanvu, mubattidde ku jjinja limu, Abimeleki mutabani w'omuzaana ne mumufuula kabaka wa Sekemu, kubanga ye wooluganda lwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nammwe mugolokose leero ku nnyumba ya kitange, era mwattira batabani be, abantu nsanvu, ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki, mutabani w'omuzaana we, kabaka w'abasajja ab'omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe;)