Judges 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale, obanga ekyo mukikoze nga mugoba nsonga era mu bwesimbu eri Yerubbaali n'ennyumba ye olwa leero, mwesiimire mu Abimeleki, naye yeesiimire mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bwe muba nga mwakola kya kitiibwa era nga mwakikola mu mutima omulungi ne muyisa Yerubbaali n’ennyumba ye bwe mutyo, kale Abimereki asanyuke, era nammwe abasanyuse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale oba nga musasudde Yerubbaali n'ennyumba ye eby'amazima n'eby'obutuukirivu, kale musanyukire Abimereki, era naye abasanyukire mmwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oba nga kye mukoze Yerubbaali n'ab'ennyumba ye kye kituufu era eky'obwenkanya, musanyukire Abimeleki era naye abasanyukire mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale oba nga mumukoze leero eby'amazima n'eby'obutuukirivu Yerubbaali n'ennyumba ye, kale musanyukire Abimereki, era naye abasanyukire mmwe: