Judges 9:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye obanga si bwe mukoze, omuliro guve mu Abimeleki gusaanyeewo ab'omu Sekemu ne mu Beti-Millo, n'omuliro guve mu bantu b'e Sekemu ne mu Beti-Millo gusaanyeewo Abimeleki.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe kitaba bwe kityo, omuliro guve mu Abimereki, gusaanyeewo abatuuze b’omu Sekemu n’ab’e Besimiiro, ate era omuliro guve mu batuuze ab’omu Sekemu ne mu Besimiiro gusaanyeewo Abimereki.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye oba nga si bwe kiri, kale omuliro guve mu Abimereki gwokye abantu ab'omu Sekemu n'ab'omu Besimmiiro; era omuliro guve mu bantu ab'omu Sekemu n'ab'omu Besimmiiro gwokye Abimereki.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu Abimeleki gwokye ab'omu Sekemu n'ab'e Betimillo, era omuliro guve mu bantu b'omu Sekemu n'ab'e Betimillo, gwokye Abimeleki.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu Abimereki, gumalewo abasajja ab'omu Sekemu n'ennyumba ya Mmiiro, era omuliro guve mu basajja ab'omu Sekemu ne mu nnyumba ya Mmiiro gumalewo Abimereki.