Judges 9:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekibi kye baakola okutta abaana ensanvu aba Yerubbaali, n'okuyiwa omusaayi gwabwe biddire Abimeleki muganda waabwe eyabatta n'abantu b'e Sekemu abaamuyambako okutta baganda be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda ng’awoolera eggwanga olw’ekikolwa eky’okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, n’omusaayi gwabwe ng’aguteeka ku Abimereki muganda waabwe eyabatta ng’ayambibwako abatuuze b’omu Sekemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo kyabaawo Abimereki n'abasajja abe Sekemu abaamuwagira okutta bagandabe, batabani ba Yerubbaali ensanvu (70), n'obukambwe balyoke basasulwe era omusaayi gwabwe gubeere ku Abimereki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kyabaawo, Abimeleki n'abantu b'e Sekemu, abaamuwagira okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, basasule omusango gwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekyejo kye baakolera batabani ba Yerubbaali ensanvu kiryoke kijje, n'omusaayi gwabwe guteekebwe ku Abimereki muganda waabwe, eyabatta, ne ku basajja ab'omu Sekemu, abaawa emikono gye amaanyi okutta baganda be.