Judges 9:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okumulemesa, abantu b'e Sekemu bassa ku ntikko z'ensozi abanyazi abaanyaganga buli eyayitanga mu kkubo eryo. Abimeleki kino n'akimanyaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abatuuze b’omu Sekemu ne bassaawo abasajja ku nsozi babbenga era banyagululenga buli eyayitanga mu kkubo. Abimereki n’ategeezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'omu Sekemu ne bassaawo abateezi okumuteegeranga ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna abaayitanga mu kkubo eryo gye baali; ne kibuulirwa Abimereki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Sekemu ne bassaawo abasajja okuteegeranga Abimeleki ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna ababayitako mu kkubo eryo. Kino Abimeleki ne bakimubuulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'omu Sekemu ne bassaawo abateezi okumuteegeranga ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna abaayitanga mu kkubo eryo gye baali: ne babuulira Abimereki.