Judges 9:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagenda mu nnimiro, ne banoga emizabbibu, ne bagisogola, ne bakola ekinyumu, ne bayingira mu kiggwa kya lubaale waabwe, ne balya ne banywa nga bwe bavumirira Abimeleki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balaga mu nnimiro ne bakungula ezzabbibu zaabwe, ne basogola omubisi, n’oluvannyuma ne bakola embaga mu ssabo lya katonda waabwe, ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagenda mu nnimiro, ne bakungula ezabbibu zaabwe, ne bazisogolamu omubisi, ne bafumba embaga, ne bayingira mu ssabo lya lubaale waabwe, ne balya ne banywa, ne bakolimira Abimereki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne bagenda mu nnimiro zaabwe ez'emizabbibu ne bagisogola, ne bafumba embaga, ne bayingira mu ssabo lya lubaale waabwe, ne balya era ne banywa, ne boogera ebinyooma Abimeleki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bafuluma mu nnimiro, ne bafumba embaga, ne bayingira mu nnyumba ya lubaale waabwe, ne balya ne banywa, ne bakolimira Abimereki.