Judges 9:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa nno abantu bano baali mu mikono gyange, nandiggyeewo Abimeleki. Nandisoomozezza Abimeleki nti: ‘Weza eggye lyo weesowoleyo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ayinza okumpa obuyinza okukulembera abantu bano, olwo ndyoke nziggyewo Abimereki? Era nzija kumusoomooza nga mugamba nti, ‘Kuŋŋaanya eggye lyo, otulumbe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era singa nze mukulembeze w'abantu bano, nandiggyeewo Abimereki! Nandigambye Abimereki nti, ‘Teekateeka eggye lyo, weesowoleyo olwane.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era singa nze mukulembeze w'abantu bano, nandiggyeewo Abimeleki! Nandigambye Abimeleki nti: ‘Nyweza eggye lyo, weesowoleyo olwane.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era singa abantu bano baali wansi w'omukono gwange! nandiggyeewo Abimereki. N'agamba Abimereki nti Yongera eggye lyo ofulume.