Judges 9:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atumira Abimeleki ababaka mu mankwetu, n'amugamba nti: “Gaali, mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu ne batabangula ekibuga kikukyawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aweereza ababaka eri Abimereki mu kyama okumugamba nti, “Laba Gaali mutabani wa Ebedi, ne baganda be bazze mu Sekemu. Basekeeterera ekibuga okukulwanyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuma ababaka eri Abimereki mu kyama, ng'ayogera nti, “Laba, Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu; bajeemesa abantu b'omu kibuga bakulwanyise.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuma ababaka eri Abimeleki mu Aruma okumutegeeza nti: “Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu, era basekeeterera ekibuga okukulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma ababaka eri Abimereki mu kyama, ng'ayogera nti Laba, Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be batuuse mu Sekemu; era, laba, bawaliriza ekibuga okukulwanyisa.