Judges 9:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya, ng'enjuba yaakavaayo, zinda ekibuga. Gaali n'abantu be bw'anaafuluma okulumba, mukole ky'osobola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu makya enjuba ng’evaayo, onoogolokoka n’olumba ekibuga. Onoomulumba ye n’abantu abali naye abajja okukulumba, ggwe olyoke obakole ekyo omukono gwo kye guteekeddwa okukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaatuuka ku makya enjuba nga kyejje eveeyo, onoogolokoka n'olumba ekibuga; awo Gaali na bali naye bwe banafuluma okulwana naawe, n'olyoka obakubira ddala nga bwosobola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Situka ku makya, enjuba nga ky'ejje eveeyo, olumbe ekibuga. Gaali n'abantu be bwe banaavaayo okukulumba, obakubire ddala nga bw'osobola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olulituuka mu makya enjuba nga kyejje eveeyo, oligolokoka mu makya n'olumba ekibuga: era, laba, ye n'abantu abali naye bwe balifuluma okulwana naawe, oliyinza okubakola nga bw'oliraba ebbanga.