Judges 9:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abimeleki n'asitula n'eggye lyonna ekiro, ne beekweka okumpi ne Sekemu mu bibinja bina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abimereki n’abasajja be ne bagolokoka mu kiro ne bagenda ne beekweka mu bibanja bina okumpi n’e Sekemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka kiro, ne bateega ekibuga Sekemu nga beeyawuddemu ebibinja bina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abimeleki ne bonna abaali naye ne bazinduka kiro, ne bateega ebweru wa Sekemu mu bibinja bina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n'agolokoka, n'abantu bonna abaali naye, kiro, ne bateega Sekemu nga beeyawuddemu ebisinde bina.