Judges 9:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Gaali mutabani wa Ebedi bwe yali afulumye, ng'ayimiridde ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga, Abimeleki we yasitukira wamu n'eggye lye okuva gye baali beekwese.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gaali mutabani wa Ebedi n’afuluma n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ne Abimereki n’abasajja be nabo ne bavaayo gye baali beekwese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gaali mutabani wa Ebedi n'afuluma, n'ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga; Awo Abimereki n'abantu be yali nabo ne bava we baali baategedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abimeleki n'abaali naye bwe baalaba Gaali ng'afuluma n'ayimirira ku mulyango ogwa wankaaki w'ekibuga, ne basituka we baali bateegedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gaali mutabani wa Ebedi n'afuluma, n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga: Abimereki n'agolokoka n'abantu abaali naye we baali bateegedde.