Judges 9:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gaali bwe yalaba abantu, n'agamba Zebuli nti: “Laba, abantu bakkirira nga bava waggulu ku nsozi.” Ye n'amwanukula nti: “Olaba ebisiikirize by'ensozi n'obiyita abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gaali bwe yabalaba, n’agamba Zebbuli nti, “Laba abantu nga bava ku nsozi waggulu!” Zebbuli n’amuddamu nti, “Ebisiikirize eby’ensozi by’olaba ng’abantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gaali bwe yalaba abantu, n'agamba Zabbuli nti, “Laba, abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi.” Zabbuli n'amugamba nti, “Olaba kisiikirize ky'ensozi, kye kifaanana ng'abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gaali bwe yabalaba n'agamba Zebuli nti: “Laba abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi.” Zebuli n'addamu nti: “Olaba bisiikirize bya nsozi nga bifaanana ng'abantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Gaali bwe yalaba abantu, n’agamba Zebbuli nti Laba, abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi: Zebbuli n'amugamba nti Olaba ekisiikirize ky'ensozi nga kifaanana ng'abantu.