Judges 9:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gaali n'addamu n'agamba nti: “Abasajja baabo baserengeta nga bava mu makkati g'ensi, ate ekibinja ekimu kijja kigoba ekkubo ly'omuvule gw'omulaguzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Gaali n’ayogera nate nti, “Laba, abantu bajja nga bayitira mu muwaatwa gw’ensi, n’ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery’omwera ogw’abafumu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gaali n'agamba nate nti, “Laba abantu bakkirira nga bayitira mu muwaatwa gw'olusozi, n'ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery'oku mwera gw'abalaguzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gaali n'agamba nate nti: “Laba abantu bakkirira nga bayitira mu muwaatwa gw'olusozi, n'ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery'oku muvule gw'abalaguzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gaali n'ayogera nate n'agamba nti Laba, waliwo abafuluma (mu kkubo eriri) wakati mu nsi, n'ekibiina ekimu kifuluma mu kkubo ery'omwera ogw'abafumu.