Judges 9:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zebuli n'amugamba nti: “Aluwa, si ggwe wagambye nti: ‘Abimeleki ye ani oyo gwe tuweereza?’ Abo si be bantu b'obadde ogaya? Kale nno balumbe obalwanyise.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Zebbuli n’alyoka amugamba nti, “Biki bye wali oyogera bwe wagamba nti, ‘Abimereki ye ani ffe okumuweereza?’ Abo si be bantu be wanyooma? Kaakano genda obalwanyise.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zabbuli n'alyoka agamba Gaali nti, “Akamwa ko kaakano kali ludda wa kubanga wagamba nti, ‘Abimereki ye ani, ffe okumuweereza?’ Bano si be bantu be wanyooma? Kale nno kaakano fuluma olwane nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zebuli n'alyoka amugamba nti: “Okwewaana kwo kuli ludda wa? Kubanga wagamba nti Abimeleki ye ani ffe okumuweereza? Bano be bantu be wanyooma. Kaakano weesowoleyo obalwanyise!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zebbuli n'alyoka amugamba nti Akamwa ko kaakano kali ludda wa kubanga wayogera nti Abimereki ye ani, ffe okumuweereza? bano si be bantu be wanyooma? kaakano, nkwegayiridde, fuluma olwane nabo.