Judges 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamuwa sekeli za ffeeza nsanvu okuva mu kiggwa kya Baali-Beriti; Abimeleki n'azeyamba okugulirira abasajja endalagge, ne bamugobereranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu okuva mu ssabo lya Baaluberisi. Abimereki n’apangisa abayaaye n’abantu abataalina bya buvunaanyizibwa ne bamugoberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuwa ebitundu ebya ffeeza nsanvu (70), bye baggya mu nnyumba ya Baaluberisi. Abimereki n'abikozesa okupangisa abasajja abalalulalu ne bamugoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza nsanvu, bye baggya mu ssabo lya Baali-Beriti. Ensimbi ezo Abimeleki ze yakozesa okupangisa abasajja abataliiko kye bagasa era abatabufutabufu, ne bamugoberera,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuwa (ebitundu) ebya ffeeza nsanvu bye baggya mu nnyumba ya Baaluberisi. Abimereki n'abiweera abasajja abataliiko kye bagasa abatali banywevu, ne bamugobereranga.