Judges 9:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abimeleki n'amugoba, Gaali n'abadduka. Bangi ne battibwa okutuukira ddala ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abimereki n’amugoba, ne Gaali n’amudduka, era bangi ne batuusibwako ebiwundu, era ne bagwa ku mulyango gwa wankaaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abimereki n'amugoba, Gaali n'adduka, Abimereki n'amuwondera okutuuka ku mulyango ogwa wankaaki. Bangi ne bagwa nga bafumitiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gaali n'adduka. Abimeleki n'amuwondera okutuuka ku mulyango gwa wankaaki. Bangi ne bagwa nga bafumitiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n'amugoba, n'adduka mu maaso ge, ne bagwa bangi nga bafumitiddwa, okutuusa mu mulyango gwa wankaaki.