Judges 9:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, abantu ne bafulumako ebweru mu nnimiro; Abimeleki n'akimanyaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwaddirira, Abimereki n’ategeezebwa ng’abantu bwe bagenda okulima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwaddirira, Abimereki naakitegeera nti abantu beetegeka okugenda mu nnimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira ne babuulira Abimeleki nti abantu bategeka okugenda mu nnimiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya abantu ne bafuluma mu nnimiro; ne babuulira Abimereki.