Judges 9:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addira eggye lye n'aligabanyaamu ebibinja bisatu, ne babeekwekerera mu nnimiro. Yalaba abantu bava mu kibuga, n'asituka n'abalumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’addira abasajja be n’abaawulamu ebibinja bisatu, n’ateegera abantu mu nnimiro. Bwe yalaba ng’abantu bafuluma ekibuga balage mu nnimiro, n’abalumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'atwala abantu n'abaawulamu ebibinja bisatu, n'ateegera mu nnimiro naalinda. Awo abantu bwe bafuluma mu kibuga n'abagolokokerako, n'abakuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'atwala basajja be n'abagabanyaamu ebibinja bisatu, n'ateegera mu nnimiro, n'alinda. Bwe yalaba abantu nga bafuluma mu kibuga, n'avaayo gye yali yeekwese, n'abalumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'atwala abantu n'abaawulamu ebisinde bisatu, n'ateegera mu nnimiro: n'atunula, era, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga; n'abagolokokerako, n'abakuba: