Judges 9:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abimeleki n'ebibinja ebyali naye, n'azinda n'ateega ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga. Ebibinja ebibiri byo ne birumba abaali bagenze mu nnimiro ne babatta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abimereki n’ekibinja kye yali nakyo ne banguwa okuwamba omulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ate ebibinja ebibiri byo ne byanguwa okulaga mu nnimiro ne batta abaaliyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abimereki n'ebibinja ebyali naye ne bafubutuka, ne bayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga; ebibinja ebibiri ebirala ne bifubutukira ku bonna abaali mu nnimiro ne babakuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abimeleki n'ab'ekibinja ekyali naye, ne bafubutuka, ne bakuuma omulyango gwa wankaaki w'ekibuga. Ab'ebibinja ebibiri ne balumba abantu abaali mu nnimiro, ne babatta bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n'ebisinde ebyali naye ne bafubutuka, ne bayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga: ebisinde ebibiri ne bafubutukira ku bonna abaali mu nnimiro ne babakuba.