Judges 9:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abimeleki n'alwanyisa ekibuga ekyo olunaku olwo lwonna, n'akikwata. Yatta bonna abaakirimu, nakyo n'akisaanyaawo, n'akimansaako omunnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abimereki n’azibya olunaku olwo ng’alwanyisa ab’omu kibuga, n’akiwamba, n’abaalimu n’abatta, n’ekibuga n’akizikiriza, n’akiyiwamu n’omunnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abimereki n'azibya obudde ku lunaku olwo ng'alwana n'ekibuga; n'akikuba, n'atta abantu abaalimu; n'amenyamenya ekibuga, n'akiyiwamu omunnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abimeleki n'azibya olunaku olwo ng'alwanyisa ekibuga, n'akiwamba, n'atta abantu baamu, n'akimenyaamenya, n'akiyiwamu omunnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n'azibya obudde ku lunaku olwo ng'alwana n'ekibuga; ekibuga n'akikuba, n'atta abantu abaali omwo: n'amenyamenya ekibuga, n'akisiga omunnyo.