Judges 9:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali bali mu kigo ky'e Sekemu bwe baawulira, ne bayingira mu mpuku y'ekiggwa kya Eli-Beriti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwawulira ebyo, abatuuze abaali mu kigo kya Sekemu, ne baddukira mu ssabo lya Eruberisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo, ne bayingira mu kinnya eky'omu ssabo lya Eruberisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo, ne bayingira mu kinnya eky'omu ssabo lya Eluberiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo ne bayingira mu kinnya eky'omu nnyumba ya Eruberisi.