Judges 9:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'alinnya ku lusozi Zalumoni n'abantu be bonna, n'akwata embazzi, n'atema ettabi ly'omuti, n'alisitula n'alissa ku kibegabega, n'agamba abaali naye nti: “Kye mulabye nkola, nammwe mukikole mangu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ye n’abasajja be ne balinnya ku lusozi Zalumoni, n’akwata embazi n’atema ettabi n’alyetikka ku kibegabega. N’alagira n’abasajja be yali nabo ng’abagamba nti, “Mwanguwe, mukole nga bwe nkoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye ne balinnya ku lusozi Zalumoni; Abimereki n'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, naalikwata naalissa ku kibegabega kye, n'agamba abantu abaali naye nti, “mwanguwe mukole nga bwe nkoze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'ayambuka ku Lusozi Zalumoni ne basajja be. N'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, n'alikwata, n'aliteeka ku kibegabega kye. N'alagira basajja be banguwe, nabo bakole nga bw'akoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abimeieki n'alinnya ku lusozi Zalumoni, ye n'abantu bonna abaali naye; Abimereki n'addira embazzi mu ngalo ze, n'atema ettabi ku miti, n'alironda, n'aliteeka ku kibegabega kye: n'agamba abantu abaali naye nti Kye mulabye nga nze nkikoze, mwanguwe mukole nga bwe nkoze