Judges 9:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu amangu ago ne batema amatabi ku miti, ne bagoberera Abimeleki, ne bagatuuma ku mpuku, ne bagiteekera omuliro; abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu, abantu nga lukumi, abasajja n'abakazi, nabo ne bafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu ku bo n’atema ettabi n’alyetikka, ne bagoberera Abimereki. Ne bagatuuma ku kigo, ne bakikumako omuliro. Abantu bonna abaali mu kigo kya Sekemu, be basajja n’abakazi nga lukumi ne bafiiramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo buli omu n'atema ettabi ku muti, n'agoberera Abimereki. Ne batuuma amatabi ku kinnya kiri. Ne bakikumako omuliro. Abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu ne bafiiramu, abasajja n'abakazi nga lukumi (1,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo buli omu n'atema ettabi ku muti, n'agoberera Abimeleki. Ne batuuma amatabi ku kinnya kiri. Ne bakikumako omuliro. Abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu ne bafiiramu, abasajja n'abakazi nga lukumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna nabo bwe batyo ne batema buli muntu ettabi lye, ne bagoberera Abimereki, ne bagassa ku kinnya kiri, ne bookya ekinnya nago; n'okufa ne bafa abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu nabo, abasajja n'abakazi nga lukumi.