Judges 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ajja mu nnyumba ya kitaawe e Ofura n'atta baganda be ensanvu, batabani ba Yerubbaali, ku jjinja limu. Naye Yotamu, mutabani wa Yerubbaali asinga obuto, n'awonawo kubanga yeekweka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alaga mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula n’addira baganda be, batabani ba Yerubbaali nsanvu n’abattira ku jjinja. Naye omu ku baana abo omuto ayitibwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali, n’adduka ne yeekweka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula, n'attira baganda be ensanvu (70) batabani ba Yerubbaali ku jjinja limu, naye Yosamu mutabani wa Yerubbaali omuto n'awona; kubanga yeekweka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofura, n'attirayo ku jjinja limu, baganda be ensanvu, batabani ba Yerubbaali. Naye Yotamu mutabani wa Yerubbaali asembayo obuto, ne yeekweka, n'atattibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula, n'attira baganda be batabani ba Yerubbaali, be bantu ensanvu, ku jjinja limu: naye Yosamu mutabani wa Yerubbaali omuto n'afikkawo; kubanga yeekweka.