Judges 9:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kibuga mwalimu ekigo; abantu bonna ab'omu kibuga, abasajja n'abakazi, ne baddukira omwo, ne beesibiramu, ne balinnya waggulu ku munaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kibuga ekyo mwalimu ekigo eky’amaanyi, era abantu bonna abasajja n’abakazi ab’omu kibuga ne baddukira omwo ne beggaliramu. Ne balinnya ku kasolya k’ekigo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kibuga omwo, mwalimu ekigo eky'amaanyi, awo abasajja n'abakazi bonna ab'omukibuga ne baddukira omwo ne beggalira, ne balinnya ku kasolya k'ekigo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyalimu ekigo eky'amaanyi. Abantu bonna ab'omu kibuga, abasajja n'abakazi, ne baddukira omwo, ne beggaliramu, ne balinnya mu kasolya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu kibuga mwalimu ekigo eky'amaanyi, omwo mwe baddukira abasajja bonna n'abakazi, ne bonna ab'ekibuga, ne beggalira, ne balinnya ku kasolya k'ekigo.