Judges 9:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ab'omu Yisirayeli bwe baalaba nga Abimeleki afudde, buli omu n'addayo ewuwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ba Isirayiri bwe baalaba nga Abimereki afudde, buli omu n’addayo ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga Abimereki afudde, ne baddayo buli muntu ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baalaba nga Abimeleki afudde, bonna ne baddayo ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga Abimereki afudde, ne baddayo buli muntu mu kifo kye.