Judges 9:57 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era yaweera n'ekibi ab'e Sekemu kye baali bakoze; ekikolimo kya Yotamu, mutabani wa Yerubbaali ne kituukirira ku bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’abonereza n’abantu b’omu Sekemu olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, n’atuukiriza n’ekikolimo Yosamu mutabani wa Yerubbaali kye yabakolimira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda era n'abonereza abantu b'omu Sekemu olw'ekibi kyabwe ne Yosamu mutabani wa Yerubbaali ekikolimo kyeyabakolimira ne kituukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda era n'abonereza abantu b'omu Sekemu olw'ekibi kyabwe, ne Yotamu kye yabakolimira ne kituukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'obubi bwonna obw'abasajja ab'omu Sekemu Katonda n'abuwalana ku mitwe gyabwe: n'okukolima kwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali ne kujja ku bo.