Lamentations 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulabe yakuba amagalo ku byobugagga bwe byonna. Yalaba ab'amawanga bwe bayingira mu kitukuvu kye, abo be wali ogaanyi okuyingira mu lukuŋŋaana lwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulabe yagololera omukono ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo; yalaba amawanga amakaafiiri nga gayingira awatukuvu we, beebo be wali ogaanye okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulabe agolodde omukono gwe, ku bintu bye byonna eby'obugagga. Kubanga alabye nga amawanga bayingidde mu kifo kye ekitukuvu. Abo beewagaana okuyingiranga mu kibiina kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe beenyagidde ebyobugagga bye byonna. Alabye nga bayimiridde mu Ssinzizo lyennyini, Mukama lye yagaanamu bannamawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulabe agolodde omukono gwe ku bintu bye byonna ebisanyusa: Kubanga alabye nga bannaggwanga bayingidde mu kifo kye ekitukuvu. Be walagirako baleme okuyingiranga mu kibiina kyo.