Lamentations 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu be bonna basinda, banoonya akookulya; eby'omuwendo byabwe baabiwaayo bagule emmere bezzeemu ku twanyi. “Ayi Mukama, tunula, naawe olabe, kubanga nnyoomeddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu be bonna basinda nga bwe banoonya ekyokulya; eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere, okusobola okuba abalamu. “Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo kubanga nnyoomebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu be bonna bassa ebikkowe, nga banoonya emmere; Bawaddeyo ebintu byabwe eby'obugagga, okugula emmere okuweezaweeza emmeeme yaabwe. “Tunula ayi Mukama, olabe; kubanga nfuuse ataliiko ky'agasa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu be bonna basinda nga banoonya ebyokulya. Bawaayo obugagga bwabwe, bafuneyo akamere kwe banaakuumira obulamu. Ekibuga kikaaba nti: “Ayi Mukama, tunulako gye ndi! Laba sikyaliko bwe ndi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu be bonna bassa ebikkowe, banoonya emmere; Bawaddeyo ebintu byabwe ebisanyusa okugula emmere okuweezaweeza emmeeme yaabwe: Tunula, ai Mukama, olabe; kubanga nfuuse ataliiko ky'agasa.